Isaiah 43:3-11

3 aKubanga nze Mukama Katonda wo,
Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.
Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,
era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
4 bKubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa,
era kubanga nkwagala,
ndiwaayo abasajja ku lulwo
mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.
5 cTotya, kubanga nze ndi nawe,
ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba
era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.
6 dNdigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’
n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’
Leeta batabani bange okuva ewala
ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
7 eBuli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange,
gwe natonda olw’ekitiibwa kyange,
gwe nakola gwe natonda.”

Eggwanga erirondeddwa nga Omujulirwa

8 fFulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba,
abalina amatu naye nga tebawulira.
9 gAmawanga gonna ka gakuŋŋaane
n’abantu bajje.
Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino?
Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo?
Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu
abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”
10 h“Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama,
“omuweereza wange gwe nalonda:
mulyoke mummanye, munzikirize,
mutegeere nga Nze wuuyo:
Tewali Katonda eyansooka
era teriba mulala alinzirira.
11 iNze, Nze mwene, nze Mukama;
okuggyako nze tewali Mulokozi.
Copyright information for LugEEEE